Micah 3

Ekibi kya Isirayiri

1 aNe ndyoka ŋŋamba nti,

“Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo,
mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri.
Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya,
2 bmmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi;
mmwe ababaagako abantu bange eddiba
ne mubaggyako ennyama ku magumba?
3 cMulya ennyama yaabwe,
ne mubabaagako eddiba,
amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya,
era ne mubasalaasala ng’ennyama
eneefumbibwa mu nsaka.”

4 dBalikoowoola Mukama,
naye talibaanukula.
Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge
olw’ebibi bye bakoze.
5 eBw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“Bannabbi ababuzaabuza abantu
balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa,
naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo.
6 fNoolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa,
n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa.
Enjuba erigwa nga bannabbi balaba,
n’obudde bubazibirire.
7 gAbalabi baliswazibwa
n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi.
Bonna balibikka amaaso gaabwe
kubanga Katonda tabaanukula.”

8 hNaye nze, nzijjudde amaanyi
n’Omwoyo wa Mukama,
okwekaliriza ensonga n’obuvumu,
njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola,
olw’ekibi kya Isirayiri.

9 iMumpulirize mmwe abakulembeze b’ennyumba ya Yakobo,
Mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri,
Mmwe abanyooma obwenkanya
Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu;
10 jmmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi,
Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu.
11 kAbakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira,
bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize,
ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa.
Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti,
Mukama tali naffe?
Tewali kinaatutuukako.”
12 lNoolwekyo ku lwammwe,
Sayuuni eririmibwa ng’ennimiro,
ne Yerusaalemi erifuuka ntuumu ya bifunfugu,
n’akasozi okuli yeekaalu kafuuke ng’akabira akakutte.
Copyright information for LugEEEE